1 Chronicles 4

Ebika Ebirala ebya Yuda

1 aBazzukulu ba Yuda abalala baali
Pereezi, ne Kezulooni, ne Kalumi, ne Kuuli ne Sobali.
2Leyaya mutabani wa Sobali n’azaala Yakasi, ne Yakasi n’azaala Akumayi ne Lakadi. Bano baali ba mu nnyumba ya Abazolasi.
3Ne bano, be baali baganda ba Etamu,
ne Yezuleeri, ne Isuma, ne Idubasi, ne mwannyinaabwe nga ye Kazzereruponi.
4 bPenueri n’azaala Gedoli, ne Ezeri n’azaala Kusa.
Bano be baali abazzukulu ba Kuuli, ng’omuzzukulu omukulu mu luggya ye Efulaasa, omukulembeze wa Besirekemu.
5 cAsukuli n’azaala Tekowa eyalina abakyala babiri omu nga ye Keera omulala nga ye Naala.
6Naala n’amuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni ne Kaakusutali; era abo be baali abaana ba Naala.
7Keera n’amuzaalira
Zeresi, ne Izukali, ne Esumani
8ne Kakkozi eyali kitaawe wa Anubu, ne Zobeba, ate n’aba jjajja w’ennyumba ya Akalukeri mutabani wa Kalumu.

9Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be, ne nnyina n’amutuuma erinnya Yabezi amakulu nti, “Namuzaalira mu bulumi.” 10Yabezi n’akoowoola Katonda wa Isirayiri ng’agamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda n’addamu okusaba kwe.

11Kerubu muganda wa Suwa, n’azaala Mekiri, ate nga kitaawe wa Esutoni. 12Esutoni n’azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina eyali omukulembeze wa Irunakasi. Bano be basajja ab’e Leka.

13 dBatabani ba Kenazi baali
Osuniyeri ne Seraya.
Batabani ba Osuniyeri baali
Kasasi ne Myonosaayi.
14Myonosaayi n’azaala Ofula.
Ate Seraya n’azaala Yowaabu, ne Yowaabu ye yali jjajja wa Gekalasimu abaalinga abaweesi.
15Batabani ba Kolebu mutabani wa Yefune baali
Iru, ne Era ne Naamu.
Ne Era n’azaala
Kenazi.
16Batabani ba Yekalereri baali
Zifu, ne Zifa, ne Tiriya ne Asaleri.
17 eBatabani ba Ezula baali
Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni.
Omu ku bakyala ba Meredi ye yali Bisiya muwala wa Falaawo, era n’amuzaalira Miryamu, ne Sammayi, ne Isuba eyazaala Esutemoa.
18 fAbo be baana ba muwala wa Falaawo Bisiya, Meredi gwe yali awasizza.
Omukyala we Omuyudaaya yamuzaalira Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanona.
19 gKodiya n’azaala abaana mu mwannyina wa Nakamu
era be baali ekika kya Keyira Omugalumi ne Esutemoa Omumaakasi.
20Batabani ba Simoni baali
Amunoni, ne Linna, ne Benikanani, ne Tironi.
N’ab’ennyumba ya Isi baali
Zokesi ne Benizokesi.
21 hBatabani ba Seera mutabani wa Yuda baali
Eri eyazaala Leka, kitaawe wa Malesa, ate era jjajja w’ebika by’abo abaalukanga linena e Besiyasubeya,
22Yokimu ye yali jjajja w’abasajja ab’e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga Mowaabu ne Yasubirekemu. (Ebigambo bino bya mu biseera bya dda). 23Abo be baali ababumbi b’ensuwa abaabeeranga e Netayimu n’e Gedera, era baabeeranga mu lubiri lwa kabaka nga bamukolera.

Ekika kya Simyoni

24 iBatabani ba Simyoni baali
Nemweri, ne Yanini, ne Yalibu, ne Zeera ne Sawuli.
25Mutabani wa Sawuli yali Sallumu, ne bazzukulu be nga be Mibusamu ne Misuma.
26Mutabani wa Misuma yali
Kammweri, eyazaala Zakkuli, nga ate jjajja wa Simeeyi.

27Simeeyi yalina abaana aboobulenzi kumi na mukaaga n’aboobuwala mukaaga, naye baganda be tebalina baana bangi, ekika kyabwe kyekyava tekyala nnyo ng’ekya Yuda. 28 jBabeeranga mu Beeruseba, ne Molada, ne Kazalusuwali, 29 kne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi, 30 lne Besweri, ne Koluma, ne Zikulagi, 31 mne Besumalukabosi, ne Kozalususimu, ne Besubiri ne Saalayimu. Bino byali bibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka. 32 nEbyalo byabwe ebirala byali Etamu, ne Ayini, ne Limmoni, ne Tokeni ne Asani, byonna awamu by’ebitaano, 33n’ebyalo ebirala byonna ebyali byetoolodde ebibuga ebyo okutuukira ddala e Baali.

Eyo gye baasenga era ne bakuuma ebyafaayo by’obujjajjabwe.

34Mesobabu, ne Yamulaki,
ne Yosa mutabani wa Amonya;
35ne Yoweeri,
ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, muzzukulu wa Seraya, muzzukulu wa Asyeri.
36Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya,
ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya,
37ne Ziza mutabani wa Sifi muzzukulu wa Alooni, muzzukulu wa Yedaya, muzzukulu wa Simuli, muzzukulu wa Semaaya.

38Abo aboogeddwako baali bakulu ba bika byabwe.

Ennyumba zaabwe ne zeeyongera nnyo.
39 oBe basenguka okwolekera omulyango gwa Gedoli ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’ekiwonvu, nga banoonya aw’okulundira ebisibo byabwe. 40 pBaalaba omuddo omugimu omulungi, n’ensi yali ngazi, ng’erimu emirembe era nga nteefu. Bazzukulu ba Kaamu be baaberangamu edda.

41 qAbasajja abo aboogeddwako baaliwo mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, era baalumba eweema za bazzukulu ba Kaamu n’Abamewuni abaabeeranga omwo ne babazikiririza ddala, obutalekaawo muntu n’omu wadde ekintu kyonna. Ne babeeranga omwo kubanga waaliyo omuddo ogw’okuwa ebisibo byabwe. 42 rAwo abamu ku batabani ba Simyoni, abasajja enkumi ttaano nga bakulembeddwamu Peratiya, ne Neyaliya, ne Lefaya ne Wuziyeeri batabani ba Isi ne balumba Seyiri ensi ey’ensozi. 43 sEra baazikiriza n’ekitundu ky’Abamaleki ekyali kisigaddewo, oluvannyuma ne basenga eyo, okutuusa olunaku lwa leero.

Copyright information for LugEEEE